African Development Foundation

Ayah by Ayah

Tags

Download Links

African Development Foundation translation for Surah Az-Zumar — Ayah 29

39:29
ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا رَّجُلٗا فِيهِ شُرَكَآءُ مُتَشَٰكِسُونَ وَرَجُلٗا سَلَمٗا لِّرَجُلٍ هَلۡ يَسۡتَوِيَانِ مَثَلًاۚ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٢٩
Katonda yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakamaabe bangi abakaayana (n'atamanya ani gwasooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana. Ebitendo byonna bya Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.