African Development Foundation

Ayah by Ayah

Tags

Download Links

African Development Foundation translation for Surah Al-Fath — Ayah 15

48:15
سَيَقُولُ ٱلۡمُخَلَّفُونَ إِذَا ٱنطَلَقۡتُمۡ إِلَىٰ مَغَانِمَ لِتَأۡخُذُوهَا ذَرُونَا نَتَّبِعۡكُمۡۖ يُرِيدُونَ أَن يُبَدِّلُواْ كَلَٰمَ ٱللَّهِۚ قُل لَّن تَتَّبِعُونَا كَذَٰلِكُمۡ قَالَ ٱللَّهُ مِن قَبۡلُۖ فَسَيَقُولُونَ بَلۡ تَحۡسُدُونَنَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَفۡقَهُونَ إِلَّا قَلِيلٗا ١٥
Abataagenda (naawe ku lutabaalo lwe Khaibara) bwe mugenda eri eminyago mube nga mugifuna bajja kugamba nti mutuleke tubagoberere, nga baagala okuba nga bakyusa ebigambo bya Katonda (okuba nga eminyago gyabo bokka ebeetaba mu lutabaalo) bagambe nti temutugoberera, bwekityo Katonda bwe yagamba oluberyeberye, olwo nno bajja kugamba nti wabula (mmwe) mutukwatirwa nsaalwa (naye nga si kyekyo) wabula baali tebategeera okugyako katono ddala.