African Development Foundation

Ayah by Ayah

Tags

Download Links

African Development Foundation translation for Surah Al-Hadid — Ayah 20

57:20
ٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا لَعِبٞ وَلَهۡوٞ وَزِينَةٞ وَتَفَاخُرُۢ بَيۡنَكُمۡ وَتَكَاثُرٞ فِي ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَوۡلَٰدِۖ كَمَثَلِ غَيۡثٍ أَعۡجَبَ ٱلۡكُفَّارَ نَبَاتُهُۥ ثُمَّ يَهِيجُ فَتَرَىٰهُ مُصۡفَرّٗا ثُمَّ يَكُونُ حُطَٰمٗاۖ وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٞ شَدِيدٞ وَمَغۡفِرَةٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٞۚ وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا مَتَٰعُ ٱلۡغُرُورِ ٢٠
Mumanye nti mazima obulamu bwensi muzannyo na binyumo, nakwewunda nakwewaana wakati wa mmwe, nakulaga bungi bwa mmaali na baana, (wabula ebyo tebisaana kubuza muntu) anti bifaananako enkuba (emeza ebirime) ebimera byabyo nebisanyusa abalimi, oluvanyuma nebikula, olwo nno noobiraba nga byengedde, oluvanyuma nebifuuka ebisusunku naye mu bulamu obwenkomerero waliyo ebibonerezo ebikakali. (nga era bwe waliyo) ekisonyiwo n’okusiima ebiva ewa Katonda. Obulamu bwensi tebulina kye buli okugyako okuba okweyagala okugayaaza obugayaaza.