African Development Foundation

Ayah by Ayah

Tags

Download Links

African Development Foundation translation for Surah Ash-Shuraa — Ayah 52

42:52
وَكَذَٰلِكَ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ رُوحٗا مِّنۡ أَمۡرِنَاۚ مَا كُنتَ تَدۡرِي مَا ٱلۡكِتَٰبُ وَلَا ٱلۡإِيمَٰنُ وَلَٰكِن جَعَلۡنَٰهُ نُورٗا نَّهۡدِي بِهِۦ مَن نَّشَآءُ مِنۡ عِبَادِنَاۚ وَإِنَّكَ لَتَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ٥٢
Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu.